Home 🎬 Bollywood 🎡 Pakistani 🎀 English Pop

Walumbe Ezzaaya

πŸ‘€ Paul Kafeero β€’ 🎼 Walumbe Zaaya β€’ ⏱️ 11:47
🎡 4021 characters
⏱️ 11:47 duration
πŸ†” ID: 12079388

πŸ“œ Lyrics

Walumbe Zaaya atukola bwati
Bakaabasajja b'otugumbula otyo
Oli wa ngeri ki atayisa balungi?
N'abessimbo n'obafaggyiya otyo!
Laba bw'olekawo ab'emitwe emiyaaye
Oli wa ngeri ki atamanyi bateefu?
Onkutulidde ne guitar nsula nkuyimba
Komaaniina ogira okubulwa w'osula
Oli mubbi nnyo mundeke mulangire
Gwe ate tunaayogera ng'abali e bukoddomi?
N'owulira enduulu n'emiranga maama
N'abagagga abasikambula mu ma benz
Laba obwa mulekwa bwe bwefuze Obuganda!
Lwa ttima olutulesa amabujje
Ne lufaakuuza n'abali e buziizi
Ne lulindiggula n'abali mu bire eyo
Lwa ndasi lulya n'abava e Bulaaya
Omutemu awenja ne mu nda z'abakyala
N'akunyuulayo n'obutonda maama!
Ate takuba miss n'obugi abugaaya!
Nkugambye luzibu tulya nalwo eka
Ne mu bifo awasanyukirwa luli eyo kyema
Luli mu nguuli gye twekeserera eyo
Kale luzibu olwetiba atamidde

Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo, kitalo woowe woowe
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo

Kyokka ggeteggete ssebo Walumbe
Nze luntunuza ng'atali musajja
Gwe atalina guitar wa gy'olaza abayimbi?
Bosomba obuliza etali siteegi
Aba reggae n'aba Bossa nova
N'aba Kadongokamu n'otugattika otyo
Ssebo gy'otutwala tetuli butuulo
Emagombe wala eyo etava kalungi
Na bonna be yetwala mpaawo alidda
Bali mu bibululu etava ddoboozi
Eyo mu nzikiza ewatali ttawaaza
Nange Paulo gye ndaga ewala eyo
Mu ttambiro ly'eyo ewabunye entiisa
Era y'ewaabulira n'owuwo omulungi
Ky'ova ondaba nkuba guitar ngayaala
Na byonna bye nkola tebimpa maanyi
Bannange essaawa y'okufa eriko ebibuuzo
Ate ne byanukulwa bityo engeri entamiivu!
Ky'ekitawaΕ‹Ε‹anya nange eyalya amabanja
Ebirinjogerwako awatali kuwuuna
Bwentyo ne neewunika ne mba ng'omukyawe
Ani alinjulira ndiba nziyidde oh!

Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo

Lusika abanene ababunye ebitiibwa
Ne lukkalira lubuukulire ng'omwo
Ab'emibiri egyeyiwaayiwa abo
Ssebo bonna telubatiisa maaso!
Lubawereba puleesa n'alusa oyo
Ne basindogoma n'olutya lusajja!
Ne luyingirira n'amaka amalungi
Ne luleka ebifulukwa ndifa ndulojja
Eyo ewajjanjabirwa eno ensi yafa dda
Balala lubazingirako waka eyo
Lwa ttima olutwenyaza mu baana
N'ofuuka ekyenyinyalwa bwotyo
Leero n'ofa ng'oweddemu omuwendo
Kw'ogatta n'obulumi obw'ekika ekiboofu
Lugaba n'emitima egy'ekinyanya mwattu
Mu bantu bannaffe be tunyumya nabo abo
Oli n'akusanjaga awatali kutyanamu
Naatakubya ngeri ki gy'olekamu mabujje!
Oluusi omuntu ng'oyo abeera n'ababe eka
Gwe ababo ne baba ng'abatali baana
Abagumba b'emitwe abo bantama nze
Abatusuza twaziirana mu miranga

Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo, kitalo woowe woowe
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo, kitalo nedda nedda
Kitalo nnyo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo

Labayo ab'ensusu embi bo abatiini
Basinduka baweddemu omuchuzi
Abalungi n'ababi bonna abagasse
Njagala ndabe ku lulimi lwa Walumbe
Olwo olugattika ebikaawa n'ebiwoomu
Oba Mabiriizi lwamulya ngayadde!
Ndowooza lwa nniimisa ntamidde
Munnange omuto eyali amanyi okuyimba
Ate nga nange lummanyi eddoboozi
Kale kyenva nnumira mu bye ntera okuyimba
Tulabye n'obulumi obutagenda kuggwa
Kino kitalo nnyo kitalo baana battu
Afazaali singa abazaawa badda
Ne batubuulira bwefaanana ewala eyo
Abalenzi abaali ab'ebitiibwa
Bonna lwa bayuza amasuuti
Luulwo ne mu byana by'abagagga
Lukonjobola ng'olusa obuwunga
Lwa ndasi lulya n'amanyi Oluzungu
Teluliiko musomi na mukaafiiri
Eyo ennyanja lwagimalamu obukejje
Naye ate nze aweramu guliivi oh!

Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo kitalo baana battu
Kitalo

Mulabe obwama bwe bwefuze abateefu
Beekengera zzisabusolo oyo
Twegeya tuli ku mabbali awo
Baka banene nze mutya okubaasa

⭐ Rate These Lyrics

β˜†β˜†β˜†β˜†β˜†
Average: 0.0/5 β€’ 0 ratings