Home ๐ŸŽฌ Bollywood ๐ŸŽต Pakistani ๐ŸŽค English Pop

Gwe Katonda (feat. Pastor Wilson Bugembe)

๐Ÿ‘ค Stream Of Life Choir โ€ข ๐ŸŽผ Gwe Katonda โ€ข โฑ๏ธ 4:29
๐ŸŽต 1875 characters
โฑ๏ธ 4:29 duration
๐Ÿ†” ID: 18150763

๐Ÿ“œ Lyrics

Jacob Beats

Katonda, teri ali kwenkana
Wadde nga twepanka, tetukutuuka
Oli Katonda tekiribaawo
Wadde ng'ensi ekyuuka
Ali dda wooli awo, oli wa manyi

Ab'amanyi nabo bakoma
Era abagaga bakaaba
Wekumira amagezi ssebo
Ggwe ate buli kiramu kiffa
Gwegwaka ebimera bimere
Gwegwaka ne bikala
Wekumira obuyinza
Kinvunamya nkusinze

Ggwe atuusa era nga b'olaba
Ogamba era nekiba
Ggwe Katonda (oli Katonda)
Weka Katonda ow'amanyi
Osuka ku buli kyendaba (osuse)
Olwana era n'owangula (mazima osuse)
Ggwe Katonda (Katonda)
Weka Katonda ow'amanyi

Ani alabirira ebisolo ku tale
Abizalisa nga tewali musawo
Ggwe Katonda (Katonda)
Weka Katonda ow'amanyi
Ani alabirira abalalu ku kubo
Babera balamu nga tewali musawo
Ggwe Katonda (Katonda)
Weka Katonda ow'amanyi
Asangula amaziga
Ayamba n'abanaku
Esuubi ly'abakadde
Omuggo gw'abalema
Ggwe Katonda (Katonda)
Weka Katonda ow'amanyi
Ffe tulabye bangi beyasitula
Baali ku zero kati bevuga
Ggwe Katonda (Muwe ebikuluma)
Weka Katonda ow'amanyi (ow'amanyi)

Ggwe atuusa era nga b'olaba
Ogamba era nekiba
Ggwe Katonda (oli Katonda)
Weka Katonda ow'amanyi
Osuka ku buli kyendaba (osuse)
Olwana era n'owangula (mazima osuse)
Ggwe Katonda (Katonda)
Weka Katonda ow'amanyi

Katonda, teri ali kwenkana
Wadde nga twepanka, tetukutuuka
Oli Katonda tekiribaawo
Wadde ng'ensi ekyuuka
Ali dda wooli awo, oli wa manyi

Ab'amanyi nabo bakoma
Era abagaga bakaaba
Wekumira amagezi ssebo
Ggwe ate buli kiramu kiffa (buli kiramu kiffa)
Gwegwaka ebimera bimere (ayayaya)
Gwegwaka ne bikala
Wekumira obuyinza
Kinvunamya nkusinze
Kababe baana b'abaana bange (Wekumira obuyinza)
Ndi bagamba byonna batende (Kinvunamya nkusinze)
Wekumira obuyinza (oli Katonda, oli Katonda)
Kinvunamya nkusinze (Ate tolemererwa toffa)
Wekumira obuyinza (Ne bwe waffa wazukira)
Kinvunamya nkusinze (Katonda atakatibwa atava ku mulembe)
Wekumira obuyinza (Talemererwa)
Kinvunamya nkusinze

โญ Rate These Lyrics

โ˜†โ˜†โ˜†โ˜†โ˜†
Average: 0.0/5 โ€ข 0 ratings